
Owek. Nsibirwa (owokusatu okuva ku ddyo) nga ali n’abakulembeze b’ekkanisa e Kyanja
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro w’Obwakabaka bwa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, akubirizza abantu okuwagira enkulaakulana.
Owek. Nsibirwa abadde e Kyanja mu kkanisa ya St. Mark Kakumba, ng’eno wabaddeyo mu musomo ogw’okusonda ensimbi okuwagira omulimu gw’okuzimba enju y’Omusumba w’ekkanisa eno.
Agambye nti amasinzizo galeetawo obumu, kubanga gasembeza wamu abantu ab’amawanga gonna, aba langi ez’enjawulo n’amabala amalala. Ayongeddeko nti okuwagira okuzimba essinzizo ky’ekikolwa ekirungi, kubanga emirundi mingi abantu baddukira mu masinzizo mu biseera eby’okusoomozebwa ne basisinkana abakulembeze b’eddiini okubalungamya mu Katonda.
Owek. Nsibirwa bw’atyo akulembeddemu Abakulisitaayo b’e Kyanja n’abantu abalala mu kusonda ssente ez’okuzimba ennyumba y’Omulabirizi, ng’ekkanisa yeetegekera okutongozebwa ng’Obulabirizi ku lunaku olusooka (1) mu mwezi gwa Museenene.