donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Owek Nsibirwa atongozza emisinde gya ‘Cancer Run’ naakubirizza abantu okwekebeza ekirwadde kya Kkookolo

Owek Nsibirwa atongozza emisinde gya ‘Cancer Run’ naakubirizza abantu okwekebeza ekirwadde kya Kkookolo
Image

Owek Robert Waggwa Nsibirwa atongozza emisinde gya Rotary Cancer Run egya 2024 e Gayaza

Mu nkola ey'okutumbula ebyobulamu mu Buganda, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abantu okwekebeza obulwadde bwa Kkookolo, era ategeezeza nti kikulu nnyo okumanyisa abantu ku bulwadde buno, kubanga bwe buzuulibwa amangu wabeerawo emikisa gy'omuntu okuwona.

Okwogera bino abadde atongozza 'Rotary Cancer Run' mu bbendobendo ly'e Gayaza eririmu amatabi ga Rotary 8.

Emisinde gino gigenda kubeerawo nga 25 omwezi guno era Oweek. Nsibirwa akoowodde abantu okugyetabamu okusobola okusonda ensimbi ezizimba ekifo kya kkookolo mu ddwaaliro ly'e Nsambya okusobola okuyamba abakosebwa obulwadde buno.

Image

Oweek Waggwa Nsibirwa ng'asimba omuti

Oweek. Nsibirwa asimbudde Bannalotale ababadde bakuŋŋaanidde mu Kisaawe e Nakwero, ne batambula kilomita eziwereddeko ddala nga 6 ng'akabonero ak'okukunga Bannagayaza okujjumbira emisinde.

Oluvannyuma aguddewo ekifo ky'abakyala abazaala ku ddwaaliro lya People's Hospital erizimbiddwa munnalotale Dr. Frank Ndugga era amwebazizza nnyo olw'okuteekawo eddwaaliro lino mu kibuga ky'e Gayaza mu kwongera okutuusa obuweereza ebw'ebyobulamu ebirungi eri abantu.

Image

Oweek Waggwa Nsibirwa ng'atongoza waadi y'abazaalisa

Omwami w'Essaza Kyaddondo Oweek. Hajj Magandaazi Matovu asiimye nnyo enkolagana wakati w'Obwakabaka ne Rotary naddala mu kutumbula embeera z'obulamu bw'abantu, yeebaziza ne Dr. Ndugga olw'okuzimba eddwaaliro, ly'agambye nti ligenda kuganyula nnyo Bannakyaddondo n'abantu abalala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK