
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’abagole Ben Foster ne Leah Nandugga mu kkanisa e Namirembe.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa alaze obwenyamivu olw’abantu abatya obufumbo ennaku zino, ate abalala ne bakikola nga bakivumirira mu ngeri ey’obufuzi oba obukukkujju — ekiraga obutali bugunjufu mu mikwano gyabwe.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Nsibirwa, okwogera kuno yakukoze ng’abadde mu kkanisa e Namirembe mu kusabira abagole Ben Foster ne Leah Nandugga.
“Omuzadde yenna abaana bw’afumbiza omwana mu makubo amatuufu tumujagulizaako kubanga abantu ennaku zino batya obufumbo, abalala bakola bwa bikukkujju.”
— Owek. Nsibirwa

Ben Foster ne Leah Nandugga wamu ne Bp. Henry Katumba Tamale nga bawereddwa sitifiketi y’obufumbo.
Yannyonnyodde nti amaka gwe musingi omuzimbirwa empisa, obuntubulamu n’okuteekateeka eggwanga ery’enkya. Nsibirwa yakulisizza Foster ne Nandugga okuyingira mu bufumbo obulambulukufu era n’abaagaliza emikisa gya Katonda okubakulembera ekiseera kyonna.
Mu mbeera y’emu, yakulisizza abazadde b’abagole olw’ekkula abaana baabwe lye batuseeko. Yasanyuse nnyo ku Dr. Livingston Ddungu, kitaawe w’omuwala, ng’omusajja omwetowaze eyeerandiza n’atuuka ku buwanguzi obw’amaanyi mu kisaawe ky’ebyenjigiriza kyokka n’asigala mukkakkamu.
Nsibirwa yakubirizza abaana okuyigira ku Dr. Ddungu, nabo batuuke ku buwanguzi obw’enjawulo mu nsi.
Bp. Henry Katumba Tamale, eyali Omulabirizi wa West Buganda, y’akulembeddemu okubuulira n’okuwa omukisa empeta. Yategeezeza nti obufumbo kusalawo kwa Katonda, era abagole baasalawo okubeera bombi abanyweza.

Ben Foster ne Leah Nandugga mu kkanisa e Namirembe nga bagattibwa
Bp. Katumba yabagambye nti obufumbo bulimu bisoomooza, kyokka abasabye okwekwata ku Katonda mu mbeera zonna kubanga y’anaabavvuunula. Yabagabira omukisa era n’asaba Abooluganda okuyimirira nabo wamu okulaba nti olugendo lwe batandise lubeera lulungi.
Abagole Ben Foster ne Leah Nandugga bagattibwa mu mateeka, ate mu kkanisa bazze okufuna omukisa gwa Katonda ku bufumbo bwabwe. Empeta zaabwe zaweereddwa omukisa, okusaba Katonda abakulemberemu mu lugendo lwe batandise.