
Owek. Noah Kiyimba nga akutte emu ku ssigiri ezikolebwa mu kifo kino
Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba alambudde kkampuni y’omwami ono eyitibwa Rokaways Creative Technologies.
Kasagga Robert mukozi wa ssigiri ezikozesa amafuta g’emmotoka agakozeeko mu kifo ky’amanda oba enku mu kufumba emmere amazzi n’ebirala ng’ono aluubirira okutaasa obutondebwensi n’okwekulaakulanya ng’omuntu. Essigiri azikolera mu miteeko egy’enjawulo omuli entono ezikozesebwa awaka, ennene ezikozesebwa ku masomero n’emikolo.
Minisita Kiyimba alaze nti Obwakabaka buwagira buli muntu okusingira ddala omuvubuka omuyiiya wamu n’abo abagatta omutindo kw’ebyo ebiriwo.”Abavubuka obuyiiya nga buno bwe twetaaga okuba nga tugenda mu maaso n’okuzimba Buganda” Minisita Kiyimba.
“Kikulu nnyo bannayuganda okukola ebintu eby’omutindo ate n’okubiwa empumba ey’omutindo kuba ebyo ebigyibwa emitala w’amayanja batusingako lwa mpumba na mutindo ate n’abayiiya nga Kasagga Gavumenti yeetaaga ebawagire kuba balina omuwendo gwe bagatta ku nsi yaffe kayi ng’ono ataasa obutondebwensi’ Minisita Kiyimba annyonnyodde.

Engeri ssigiri gye zikolebwamu mu kifo kya Rokaways Creative Technologies
Owek. Kiyimba akoowodde bannayuganda okutaasa obutondebwensi nga bettanira enfumba eno ng’agamba nti abasinga okufumbisa amanda tewali ku bonna asimba miti kale asabye Mw. Kasagga okusomesa abantu bonna enkozesa y’essigiri atuukeko ne mu baana b’amasomero naddala ago agasomesa eby’emikono.
Kasagga Robert omukozi w’essigiri zino alaze nti esigiri zino zikozesa ‘oil’ omukadde ow’emmotoka atwalibwa nga atalina mugaso era ye ng’aluubirira okutaasa obutondebwensi.Ono alaze okusomozebwa kw’asanga mu mulimu guno nga okusinga by’ebikozesebwa by’akolamu essigiri zino okubeera eby’obuseere so nga si kituufu kutuusa bintu bitali bya mutindo ku bantu, kale afuba wakati mu kunyigiribwa abantu n’abawa ekisinga obulungi.
Nabukeera Agnes kitunzi wa Rokaways Creative Technologies alaze nti esigiri zaabwe ze bakola zitaasa nnyo abantu mu kukendeeza ensimbi mu kugula amanda n’enku wamu n’abo abasasula amasanyalaze so wano omuntu yegulira liita ya oil ya 1500 nagikozesa ennaku 2 n’okusoba.