
Owek. Kazibwe kitooke nga wa obubaka bwe
Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, bino abyogeredde Luzira ku St. Stephen's Church, mu kubatiza abaana Daniel Muwonge ne Ivan Mukasa Junior, batabani ba Oweek Mukasa Ivan omukiise w'abavubuka mu lukiiko lwa Buganda.
Minisita Kazibwe ategeezezza nti eddiini mpagi nnene mu kunyweza obuntubulamu mu mwana era kikulu okunyweza empagi eno mu maka.
Rev. Brenda Nabitosi Kiyagga, omusumba wa St. Stephen's Church Luzira, y'abatizza abaana bano abajuliddwa abantu abawerako okubadde; Oweek Ann Namayanja Kigudde, Kasule Stanley, Patrick Ssekyanzi, Peter Ssenyimba nga ye mukulu wa Luzira Secondary school, Nnalongo Racheal Jjuuko ow'ebyensimbi ku disitulikiti ye Mukono.