
Owek. Kawuki nga awa obubaka mu nsisinkano n’ababaka ba Kabaka ku Bulange e Mmengo
Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga z’Ebweru wa Buganda, Owek. Joseph Kawuki, asabye Abaami ba Kabaka buli kiseera okugatta abantu ba Kabaka era beewale eby’obufuzi ebibaawulayawula.
Okwogera bino, abadde asisinkanye Abaami b'Amasaza agali ebweru wa Buganda mu Uganda n’Omwami w’essaza lye Scandinavia ku Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Owek. Kawuki agamba nti ekimu ku nsonga enkulu mu Bwakabaka kwe kunyweza obumu, era yasabye Abaami bano okwewala eby’obufuzi n’ensonga zonna eziyinza okwetemaatema mu bantu.
Yabajjukiza okukola emirimu nga bagyetegekedde, nga bayita mu kukola enteekateeka z’omwaka nga zitambulirwako embalirira yaazo. Kuno kuyamba okulaga abantu ensimbi zabwe gye zigenda mu kuzimba Obwakabaka.

Owek. Kawuki (owokusatu okuva ku kkono) ng’ali n’ababaka okuva mu Busoga, Ankole, Rwenzori, Mbale, ne Busia, wamu n’omubaka okuva mu mawanga ga Scandinavia
Owek. Kawuki abakubiriza okunyweza enkiiko z’Amasaza gano ku mitendera gyonna nga abaliko balambikiddwa bulungi eky’okukola, naddala okukumakuma abantu ba Kabaka bonna.
Omwami wa Kabaka e Scandinavia, Owek. Nelson Mugenyi, agamba nti ensisinkano eno ebasobozesezza okwanjulira Owek. Joseph Kawuki ebitegekeddwa okukolebwa omwaka guno. Mu bino mulimu olusirika lw’abavubuka, olunaku lwa Buganda, n’ebirala bingi.
Abaami bano kubaddeko ow’e Busoga, Ankole, Rwenzori, Mbale, Busia ne Scandinavia, nga mu Scandinavia mulimu ensi ez’enjawulo okuli Sweden, Denmark, Norway, Finland ne Iceland.