
Katikkiro Charles Peter Mayiga nga awa obubaka bwe mu misa n’okusoma okutegeddwa okujjukira Ssaabalamuzi Ben Kiwanuka. Mayiga akubiriza Bannayuganda okwefumiitiriza ku kutemulwa kwa Kiwanuka, okusoma ku butuufu n’okuba abenkanya.
Mu musomo n’okujjukira ku Pope Paul Memorial Hotel, Ndeeba, Katikkiro Mayiga yasabye Bannayuganda okufumiitiriza ku kutemulwa kwa Ssaabalamuzi Ben Kiwanuka, okukujjukiza eby’obwenkanya, n’okuba abenkanya mu bulamu bwabwe obwa buli lunaku.
“Uganda ekyetaaga abazira nga tebavudde mu kuttibwa,” Mayiga agamba. “Abantu abamu bagamba kirungi okubeera omuzira era otabe mujulizi kubanga abajulizi bangi tebajjukirwa, naye kirungi nti Ben Kiwanuka tumujjukidde.”
Katikkiro Mayiga atenderezza obuweereza obumalirivu n’obuvumu bwa Kiwanuka era akangavizza nti Bannayuganda beetaga okulaba ekitongole ekiramuzi nga kitaputa amateeka mu ngeri ey’obwenkanya. Yategeezezza nti ebyafaayo by’ensi biraga nti obwetengereze bw’ekitongole ekiramuzi n’enfuga etambulira ku mateeka kye musingi ogukulaakulanya abantu n’ensi ze babeeramu. Ono agamba nti okutemula kwa Ssaabalamuzi kubeere kyakuyiga eri abantu bonna, okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, okulumirwa ensi n’okunyweza enfuga etambulira ku mateeka, era n’okwewala embeera ezivaako okutyobola eddembe ly’obuntu n’okutwalira amateeka mu ngalo.
Omwogezi ow’enjawulo mu nteekateeka, Dr. Jim Spire Ssentongo, agamba nti newankubadde teyaliwo mu biseera bya Bendicto Kiwanuka, asomye ebitabo eby’enjawulo ebyamuwogera ku butuufu bwe bw’okukulembera obw’amazima n’obwenkanya. Yakangavizza nti abaana b’ennaku zino basigalidde kulabira ku babbi n’abakumpanya abajjudde mu ggwanga, okusoma ku bantu abateekateekedde eby’obwenkanya mu ngeri ez’enjawulo.
Dr. Spire agamba nti olw’okuba Kiwanuka yali ayayanira obwenkanya, yakwatagana nnyo n’abo abalina obuyinza mu ngeri ez’enjawulo, okuli abakulembeze b’amatwaale, Ssekabaka Muteesa II, abakulembeze b’eddiini n’abalala.
Omusumba ow’essaza ekkulu ery’e Masaka, Serverus Jjumba, nga y’akulembeddemu mmisa, agamba nti alina omukisa okuba nga yasisinkanako Ben Kiwanuka nga mwana muto, n’ekitiibwa ekyali kimuweebwa abantu kye kyamuyamba okukwatagana n’abantu n’okukulembera mu butuufu.

Omusumba Serverus Jjumba ne Katikkiro n’abalala nga beetabye mu mmisa mu kifaananyi eky'awamu
Omusumba Jjumba akikaatiriza nti obwenkanya bwe buzaala emirembe era kisaanidde okwefumitiriza wa eggwanga weriyimiridde ku kwetongola kw’essiga eddamuzi wakati mu kaseera omuli ekiwamba bantu, ekibba ttaka, okukwata abantu awatali kye bakoze n’ebirala.
Emmisa n’omusomo guno bitegekeddwa ekitongole ky’Obwenkanya n’Emirembe eky’e ssaza lya Ekelezia ekkulu erya Kampala wansi w’omulamwa “Tusonyiwe ebibi byaffe, tuwe emirembe.”
Omusomo guno gwa mulundi gw’akuna ku gitekeddwa ku kujjukira omulamuzi Bendicto Kiwanuka nga gyatandikiibwawo munnamateeka omugenzi John Baptist Kakooza.
Katikkiro eno awerekeddwako Baminisita ba Kabaka okuli; Ssaabawolereza Oweek. Christopher Bwanika, Minisita wa Kabineeti Oweek. Noah Kiyimba, Minisita w’Amawulire Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Katikkiro eyawumula Oweek. Mulwanyamuli Ssemwogerere n’abantu abalala.