
Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ng’awa obubaka bwe ku kyeetaago ky’okweyongera ku mutindo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, asabye abantu okweyongera ku mutindo buli kaseera nga bongera ku ebyo bye bamanyi basobole okuvuganya mu nsi eno.
Bino abyogeredde ku mukolo Omuk. Leticia Nakimuli kwe yeebazizza Katonda oluvannyuma lw’okufuna PhD okuva ku Uganda Management Institute.
Owek. Kaawaase agamba nti Ensi ejjudde okuvuganya, era omuntu alina okweyongera mu buli kiseera. Yebazizza Omuk. Nakimuli olw’obuvumu bwe yalaga, nga bw’akola ate ng’addayo okusoma, n’amulaga nga eky’okulabirako eri abalala.

Leticia Nakimuli (wakati) ng’ajjaganya oluvannyuma lw’okufuna PhD okuva ku Uganda Management Institute
Ye Minisita w’Ebyenjigiriza, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, yebazizza Omuk. Nakimuli olw’obuweereza bwe eri Obwakabaka n’okufaayo okwongera okwesitula. Ategeezezza nti Minisitule eluubirira okulaba nga buli ekikolebwa kyongera ku mutindo, era nakakasizza nti Omuk. Nakimuli azzeemu okuwa ekyokulabirako ekirungi.
Omuk. Leticia Nakimuli ye mukwanaganya w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka era yaliko Ssenkulu wa Buganda Royal Institute.