donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Owek. Kaawaase asabye olunaku lw’Ameenunula lujjukize gavumenti okukola ku nsonga ezikwata ku muntu asookerwako

Owek. Kaawaase asabye olunaku lw’Ameenunula lujjukize gavumenti okukola ku nsonga ezikwata ku muntu asookerwako
Owek. Dr. Twaha Kaawaase Ng'ayanirizibwa Ssaabaminisita Owek. Robinah Nabbanja

Owek. Dr. Twaha Kaawaase Ng'ayanirizibwa Ssaabaminisita Owek. Robinah Nabbanja

Okujaguza ameenunula ga Uganda kabeere kabonero ok’okujjukira n’okutumbula ensonga ezikwata ku muntu asookerwako.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, asabye gavumenti okwettanira okukola ku bizibu eby’enjawulo ebiruma omuntu asookerwako mu buli mbeera. Yagambye nti olunaku lw’Ameenunula, olukuzibwa buli mwaka nga 26 omwezi ogw’okusatu, lujjukize bannayuganda n’abakulembeze okussa essira ku nsonga zino ezisookerwako.

Obubaka buno, Owek. Kaawaase yabuwadde kulwa Buganda ng’ayogerera ku mukolo ogw’okujaguza emyaka 39 egy’ameenunula ga NRM/NRA, oguyindidde mu kisaawe kya NTC, Mubende mu Buweekula ku Ssande.

Owek. Kaawaase yagamba nti buli mulembe guba n’essuula yaagwo, era eggyayo ekifaananyi ky’obukulembeze obukolebwa. Yatenderezza NRA olw’okuzzaawo obukulembeze obw’ennono mu Uganda, ng’agamba nti kino ky’ekimu ku bintu ebikulu ennyo ebyakoleddwa era ebyetagisa okusigala nga bijjukirwa.

Image

Owek. Kaawaase ng’ali ku mikolo gya Ameenunula

Ono yategeezezza nti waliwo ensonga ezirina okusembererwa, okusitula omutindo gw’embeera z’abantu mu byenkulaakulana, ng’enguudo, amalwaliro, amasomero, n’ebirala ebyetagisa okukolwako ennaku zino.

Wakati mu kugulumiza ebyakoleddwa mu myaka 39 egy’obukulembeze bwa NRM, Owek. Kaawaase yakizudde nti waliwo ebintu bingi ebyatuukiddwaako, omuli n’okuddiza Buganda ebintu byayo eby’enjawulo. Kyokka yategeezezza nti wakyaliyo ebisoomooza ebyetaaga okukolwako, abantu bongere okunyumirwa ensi yaabwe n’okwewaana obukulembeze obuliwo.

Omukolo gwetabiddwako Pulezidenti Museveni ng’omugenyi omukulu, era abaweereza ab’enjawulo abakoledde eggwanga obuweereza obw’ekitiibwa baasimbuddwa n’emidaali gy’okusiima olw’obuvunaanyizibwa bwabwe.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK