donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Owek. J.W Katende aweereddwa engule okumwebaza olw’obuwanguzi bwa Ebonies mu myaka 47

Owek. J.W Katende aweereddwa engule okumwebaza olw’obuwanguzi bwa Ebonies mu myaka 47
Image

Nnaabagereka (ku kkono) akwasa engule Owek. J.W. Katende (wakati), ne Dr. Bossa (ku ddyo)

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’Omumbejja Katrina Sarah Ssangalyambogo batuuse ku Serena Hotel okwetaba ku bijaguzo eby’emyaka 47 egy’ekibiina kya bannakatemba ‘The Ebonies.’

Nnaabagereka assinzidde ku mukolo guno n’akwasa Owek. J.W. Katende engule eno. Yamuttenderezza olw’okuba omuntu alina okwolesebwa okw’amaanyi ate n’obumalirivu, ebyamuyambye okuyimirizaawo ekibiina kya ‘The Ebonies’ okumala emyaka 47.

Image

Mu ngeri y’emu, yebazizza mukyala we, Margaret Katende, gwe yatuumye nga mpagi nnene ennyo eyasinziddeko obuwanguzi bwa bba.

Nnaabagereka era atenderezza obuweereza bwa ‘The Ebonies’ olw’omutindo gwabwe ogw’okutumbula obuwangwa obw’enjawulo mu Uganda, n’okusingira ddala obwa Buganda.

Yagambye nti ebyo bye bakoze bituukiriza obwetaavu bw’okuyigiriza n’okutuusa obubaka obw’enjawulo eri abantu nga bayita mu mizannyo gyabwe egy’enjawulo mu myaka 47.

Image 3  21-DEC-2024_large.jpg

Mu kwogera kwe, Maama wa Buganda yeebazizza abantu ab’enjawulo ababaddewo mu lugendo lwa ‘The Ebonies,’ n’abalala abaetabye mu kulaba omuzannyo gwe baategese ku Serena Hotel.

Yagambye nti omuzannyo gwe baategese gubadde mukisa ogw’okugatta abantu abaaliwo edda ate n'emigigi emito ate okuyigira ku bannakatemba bano abalina obumanyirivu.

Era, Nnaabagereka asinzidde wano n’asaba Gavumenti, ebitongole n’abantu kinnoomu okuwagira ekisaawe ky’ebyakatemba n’ebitone, okusobola okutumbula Obuwangwa n’okuzimba amawanga n’Ensi okutwaliza awamu.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK