
Omusumba nga akwasa abagole certificate y’obufumbo
Owek. Harriet Namukasa, omukiise wa Buganda Nkobazambogo mu Lukiiko lwa Buganda, agattiddwa empeta ne bba Omar Zziwa mu Lutikko e Namirembe.
Rev. Canon Dr. Grace Paul Kakooza, akulira ebyenjigiriza mu kkanisa ya Uganda, y’aggasse ababiri bano, n’abakuutira mu lugendo lwe batandise bakulembeze okwagalana, okuwaŋŋana ekitiibwa, era buli omu akalimirirwa munne ng’amwagaliza ekisinga obulungi.
Abasabye obutaganya tekinologiya kumenyamenya bufumbo bwabwe, kyokka basobola okumweyambisa obulungi okunyweza omukwano gwabwe.
Era tukuyozayoza Mwami Omar Zziwa ne Owekitiibwa Harriet Namukasa okutuuka ku kkula ly’obufumbo obutukuvu.