
Oweekitibwa Mpanga nga awayamu ne Oweekitinisa Agaba ku nsonga z’ettaka
Minisita w’ettaka n’ebizimbe mu Bukama bwa Tooro, Oweekitinisa Vincent Agaba, asisinkanye munne mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. David F.K. Mpanga, nebawayamu ku nsonga ezikwata ku ttaka n'okwongera okunyweza enkolagana eriwo mu kulaba nga batuusa obuweereza obwannamaddala eri abantu be bakulembera.
Oweekitinisa Agaba azze okufuna amagezi okuva mu Bwakabaka ku ngeri gye bukwatamu ensonga z’ettaka, n'engeri Kitongole kya Buganda Land Board gye kisobodde okuweerezaamu abantu ba Kabaka mu ngeri ezitali zimu.
Kino kigendereddwamu okutwala amagezi gano e Tooro bafune we batandikira mu kuddukanya ettaka ly’Obukama obulungi.

Oweekitinisa Agaba nga alamusa ku Ssenkulu wa Buganda Land Board mu nsisinkano e Bulange
Ensisinkano eno ebadde ku Bulange, mu kakkalabizo lya Minisita w’Ettaka, era yetabiddwamu Ssenkulu wa Buganda Land Board, Omuk. Kaboggoza Simon.