Oweek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, abadde minisita w’Obwakabaka ow’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, olwa leero awaddeyo woofiisi n’ebikozesebwa eri Oweek. Cotilda Nakate Kikomeko, amuddidde mu bigere.
Yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumuwa omukisa n’aweereza nga minisita mu gavumenti ye, ate ne Katikkiro, Oweek. Charles Peter Mayiga olw’okumulungamya ebbanga lyonna ly’amaze nga minisita. Assuubizza okuwagira minisita omuggya n’enkolagana ennungi.
Oweek. Kikomeko naye yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumuwa omukisa okuweereza mu gavumenti ye. Yebazizza minisita awummudde olw’obuweereza n’okubalambika obulungi mu kakiiko k’ebyenjigiriza.
Assuubizza okuweereza obulungi okulaba ng’ayongera okusitula embeera z’abantu ng’obuvunaanyizibwabwe bwe bulambikiddwa.
Oluvannyuma minisita awummudde bamuwadde ebirabo ne basala ne kkeeci okusiima obuweerezabwe.