Abakulembeze babakyala mu ssaza kyadondo nga bali ne Oweek Hajjat Mariam Mayanja
Minisita wa bulungibwansi, obutondebwensi n'ekikula ky'Abantu Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, atongozza obukiiko obukulembera abakyala ba Buganda mu Ssaza Kyaddondo ku mbuga y'essaza e Kasangati.
Minisita Mariam asoose kulambula Gombolola ez'enjawulo mu nteekateeka y'okukuuma obuyonjo ku mulamwa ogwa Amaka amalungi, akaalo akalungi, era alambudde emirimu egikolebwa abakyala mu Ssaza Kyaddondo ng'atandikidde Nateete mu maka ga mwami Ssendagire Kaggwa, oluvannyuma n'agenda mu maka ga Oweek Agnes Lukwago e Lubya n'e Kawempe mu maka ga Hajji Ssekasamba Jamir ngeno mu maka gano bingi ebikolebwayo omuli okulima, okutendeka abalimi n'abalunzi n'ebirala.
Mu bubaka bwe, Oweek Mariam akuutidde Abakyala okweyongera okwenyigira mu bwegassi n'okuyiga okulimira awatono bagobe obwavu.
Atwala e Ssaza Kyaddondo Hajji Ahmed Magandanzi Matovu, asabye abazadde okwongera okunnyikiza eddini mu baana ng'agamba nti abantu abebyokwerinda ekibakubya abantu abasinga tebaakuzibwa na mpisa.