
Abamu ku bantu abeetabye mu Ttabamiruka w’Abakyala e Sweden
Ebintu byonna byetukola, ekifaananyi kyaffe eri abalala ne ku mirimu gyaffe kisibuka waka.
Kikulu nnyo okufuba okulaba ng’Amaka gabeera ga kitiibwa, era mukimanye nti ekitiibwa tekijja buzzi, buli omu mu maka ago alina okukikolerera. Wabula ffe abakyala, ffe tutandikirwako okulaba ng’Amaka gabeera ga kitiibwa.
Ekitiibwa ky’Amaka kitandikira ku nneeyisa y’omukyala mu maka, muno mwemuli okubeera n’empuliziganya ennungi mu maka, okussanganamu ekitiibwa, obuyonjo n’obukozi ennyo nga ebisookerwako.
Amaka bwe mubeeramu abaana, tukimanye nti lye ssomero erisookerwako — okunyweza empisa mu baana, eby’obuwangwa n’ennono, olulimi lw’eggwanga lyo, olwo ebirala nebigoberera.
Entanda eno yasibibwa ku Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita w'Ekikula ky'Abantu mu bwakabaka, gy'asibiridde abantu be Kabaka abeetabye mu ttabamiruka w'Abakyala n'Abaana e Stockholm, Sweden mu Ssaza Scandinavia.
Minisita Mariam Nassejje Mayanja, ayongeddeko nti amaka bwegabeera amatebenkevu, ne gyetuwangaalira wabeera n’obutebenkevu, wamu n’Ensi okubeera entebenkevu.

Omwami wa Kabaka eyatuuziddwa
Oweek Mariam agamba nti wewawo ekitiibwa kitandika n’Omukyala mu Maka, naye kyetaaga ne wabaawo enkolagana ennungi n’Abaami baabwe kubanga ekitiibwa ekijjuvu, kizingiramu abantu bonna ababeera mu maka n'okumanya obusobozi bwa buli omu era nebagabana obuvunaanyizibwa wabula nga bawagiragana mu mbeera zonna.
Amaka okutebenkera omwami n'omukyala beetaaga okunyweza omukwano gwabwe buli omu alowooze ku ngeri ezenjawulo ezisobola okunyweza amaka era bazisse mu nkola.
"Tukimanyi bulungi nti eno e Sweden, mubeera n’okusoomoozebwa kubanga obuwangwa bwayo bwa njawulo ku bw’e Buganda. Era kibeera kizibu nnyo okunywerera ku buwangwa bwammwe ng’ate mutambulira mu buwangwa bulala.
Eky’okulabirako, kizibu okuyigiriza abaana Oluganda ng’ate byebakola ne bye basoma bibeera mu lu Swiidi. Kyokka tulina okufuba, tulwogere, tugezeeko okufuna obutabo, ate kati ku mulembe ogwa Tekinologiya, tusobola bulungi okufuna empenduzo ku mitimbagano eziyigiriza olulimi oluganda."
— Oweek Mariam
Newankubadde bali mu buwangwa obw'enjawulo, Minisita Mariam anokoddeyo bye basobola okwesibako, okugeza; okussaamu abantu ekitiibwa, okubuuza, enneeyisa mu kulya, ennyambala, okwogereganya n’empisa endala ez’Obuntubulamu ng’okubeera ab’Amazima, obwesimbu, okufuna ensonyi ku bintu ebikyamu, okufaayo, obukozi n’obukulembeze.
Ssentebe wa Ttabamiruka w'Abakyala mu Buganda, Dr. Sarah Nkonge Muwonge, asabye abazadde okufuba okusomesa abaana Ebika byabwe wamu n’ensonga ezikwata ku Ggwanga lyabwe, era babatuume amannya g'Abaganda okubasobozesa okwenyumiriza mu nsibuko y'abwe.
Ttabamiruka atambulidde ku mulamwa, amaka amalungi n'obwegassi mpagi mu nkulaakulana.
Abavubuka n'Abaana abato abeetabye mu lukungaana luno, boolesezza ebintu eby’enjawulo ebyoleka obuwangwa bw'abwe gyebasibuka, omuli; okuwata emmere, okulanya, okuyimba, n'okusoma olulimi oluganda.