Oweek Anthony Wamala wakati mu ttaayi emmyufu wamu n’abakulembeze abamukyalideko mu kakalabizolye
Minisita Dr. Anthony Wamala asisinkanye obukulembeze bw'abaluŋŋamya b'emikolo mu Buganda nga bakulembeddwa Ssentebe waabwe Omw. Kajja Isma.
Mu nsisinkano eno bamwanjulidde enteekateeka y'olunaku lwabwe olugenda okuba e Kyaggwe nga 10/7/2024 era nga y'egenda okuba entikko y'akazannyo kaabwe aka "Atamukutte" akazannyibwa ku BBS Terefayina buli Lwassande.
Mu nsisinkano eno, Oweekitiibwa era bamwanjulidde okusaba kwa "Bamikolo Selectors" abakuba emiziki ku mikolo abakulemberwa Omw. Ssekate Jackson, abasabye okutambulira mu kuluŋŋamizibwa kwa Minisitule era okusaba kuno Minisita akwanirizza.
Minisita abasabye okwongera okuba abayiiya n'okufuba ennyo okukuuma ekitiibwa ky'emikolo gyaffe nga beewala okugigattamu ebintu ebityoboola ennono yagyo. Abakubirizza okuteeka omuwendo ku mirimu gye bakola n'okufubanga okuluŋŋamya ababawa emirimu ku nkola entuufu erina okugobererwa.
Ensisinkano yeetabiddwamu Ssentebe w'Abaluŋŋamya mu Kyaggwe, Omulangira Nakibinge Deogratious, era nga ye Ssentebe w'enteekateeka z'omukolo.