Minisita w'Obuwangwa, Ennono, obulambuzi, n'eby'okwerinda, Oweek Anthony Wamala, alabudde Bannalulungi b'Amasaza g'Obwakabaka obutagayaalirira mikisa gyebaafuna, naabasaba bagikolemu ebintu omuva ensimbi.
Minisita Wamala, okulabula kuno akukoze asisinkanye bannalulungi bano mu Woofiisi ye e Mengo ababadde bamukyaaliddeko okukubaganya ebirowoozo ku nteekateeka zebalina ezigenda okutumbula obulambuzi mu Buganda, era nga baagala kuyambibwaako.
Oweek Anthony Wamala agambye nti ssinga bannalulungi bano bakozesa omukisa gwebalina nebatumbula eby'obulambuzi mu Masaza gyebasibuka, kya kutumbula eby'obulambuzi mu bitundu bya Buganda eby'enkizo, nokwongera ensimbi mu ggwanika ly'Obwakabaka.
Oweek Wamala era ajjukizza Bannalulungi okuddayo basome, bongere ku kumanya kwaabwe olwo emikisa gyémirimu gibaggire.
Abamu ku bannalulungi abeetabye mu nsisinkano eno nga bakulembeddwaamu Nabakungulu Vanessa Hanna okuva e Buddu, Sanyu Ruth Mugabi owe Kyaddondo, Jemimmah Bright ne Nansukusa Esther, beeyamye okukolagana n’Obwakabaka mu kutumbula eby'obulambuzi mu Buganda ne Uganda yonna.