Oweek Anthony Wamala wakatti mu kooti enjeru nabakungu abalala abenjawulo
Oweek. Wamala asabye amasomero okusomesa ennimi ennansi.
Bw'abadde aggalawo omwoleso gw'amasomero mu Lubiri e Mengo, Oweek. Anthony Wamala, Minisita w'Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi, n'Ebyokwerinda alaze obwennyamivu ku ngeri enkozesa y'Olulimi oluganda gyetandise okuseebengerera, ng'okusingira ddala abantu olulimi balwogera balutabinkiriza ate n'okwogera ebigambo mu bukyamu. Bwatyo asabye ab'akulira amasomero okuwa abaana omwaganya okuyiga ennimi ennansi ate n'okuzikozesa basobole okuzitegeera obulungi.
Minisita yeebaziza nnyo amasomero ageetabye mu kwolesa kuno, wamu n'abazadde abajjumbidde enteekateeka nga kwotadde n'abavujjirizi abataddemu ensimbi okulaba ng'omwoleso guyimirirawo ennaku ssatu. Asuubiza okwongera okulinyisa omutindo gw'omwoleso guno, era asabye abategesi okunyweza omukago n'aboolesi abeetabyemu.
Oweek. Robert Nviiri akiikirira Ekibiina ky'Olulimi oluganda mu Lukiiko lwa Buganda yeebaziza nnyo Obwakabaka olw'okusoosowazanga olulimi oluganda era agamba nti baakugenda mu maaso okunnyikiza Olulimi nga bakwatagana n'ebitongole by'Obwakabaka eby'enjawulo naddala ekitongole eky'ebyenjigiriza nga bannyikiza Ensonga y'Olulimi mu Masomero.
Oweek Anthoney Wamala kudyo nabakungu abalala
Omuk. Nansubuga Grace Lubowa Ssentebe w'ekibiina ky'olulimi oluganda ow'ekiseera Asiimye nnyo abantu bonna abazze mu mwoleso guno ogwategekeddwa ekibiina kyabwe, era asuubiza okwongera okunyweza enteekateeka eno okulaba ng'eyongera okugasa abantu ba Kabaka. Bwatyo yeebaziza nnyo abantu olw'okwagala Olulimi, asuubiza nti baakwongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'ekibiina okuli okuwandiisa ebitabo, Emizannyo, okukyusa ebiwandiiko, n'ebirala n'ekigendererwa eky'okutumbula Olulimi n'Obuwangwa.
Abantu abeetabye mu mwoleso basiimte nnyo enteekateeka eno gye bagambye nti ebayambye okutuuka ku bazadde b'abaana baabwe, era basobodde okufuna abeewandiisiza okubeegattako.
Omwoleso guno ogutambulidde ku mulamwa "Abaana Basome" gubaddewo okumala ennaku ssatu okuva nga 26 okutuuka nga 28 lwe gugaddwawo.