Oweek Patrick Luwaga Mugumbule nga atongoza omwoleso
Gwa kubaawo okuva nga 16th ppaka 25th Muwakanya, wansi w'omulamwa "okutumbula eby'obulambuzi, obulimi n'obulunzi".
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, yatongozza omwoleso guno n'akubiriza abantu bonna mu ggwanga okwettanira omwoleso ggagadde 2024 okwongera okumanya n'okutegeera ebikolebwa wano mu ggwanga ne gyebisangibwa okusobola okwongera omutindo ku mirimu gyabwe ssaako n'okutumbula embeera zaabwe.
Sipiika asinzidde mu bimuli bya Bulange neyeebaza Minisitule y'ebyobulambuzi mu bwakabaka olw'okuteekateeka omwoleso guno ogutandika nga 16 ppaka 25 omwezi ogujja ogwa Muwakanya mu Lubiri e Mmengo.
Agasseeko nti Uganda erina ebintu by'obulambuzi bingi ebitali bipangirire nga bwekiri mu mawanga amalala, okugeza, ebisolo, embeera y’obudde, emmere abantu gyebalya, bino byonna bisikiriza abalambuzi era byebimu kwebyo munnayuganda byasaanye okulabako mu mwoleso guno.
Okutongoza omwoleso gwa Buganda
Minisita W'amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke kulwa Minisita w'Obuwangwa Ennono n'Obulambuzi Oweek Dr. Anthony Wamala, ategeezezza nti omwoleso gw'omulundi guno gwa njawulo ku jizze jibaawo, nga guno gu gendereddwamu okuddiza ku bannansi mu ttunduttundu lye Karamoja mu kaweefube w'okwongera amaanyi mu nkolagana y'Obwakabaka n'amawanga amalala mu ggwanga.
Oweek Kazibwe asabye abaagala okwolesa okwewandiisa ne minisitule y'ebyobulambuzi mu bwakabaka mu bwangu ddala olw'enteekateeka ennungi.
Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board, Omuk. Albert Kasozi, ategeezezza nga omwoleso guno bwegugendereddwamu okutumbula eby'obulambuzi mu ggwanga nga bayita mu kutumbula amakolero amatonotono.
Lubuulwa Moses akulira LUBA events, abakulembeddemu enteekateeka eno,
ategeezezza ng'omwoleso guno bwegugendereddwamu okuwa omwagaanya buli muntu alina kyakola akyolese ensi ekimanye, okugeza, ebyemizannyo, eby'ensanyusa, amakolero, ebyenfuna, tekinologiya, eby'enjigiriza, eby'obulamu n'ebirala.
Mu kusooka wabaddewo okuyisa ebivvulu okuva mu Lubiri ppaka ku Bulange, ng'emu ku nkola yokulaga abantu ebyo ebinaabeera mu mwoleso guno mu Lubiri.