
Ekifananyi ekyawamu oluvannyuma lw’okutuuza Kayima ow’ekiseera.
Hajj Hassan Kasujja Kagga atuuziddwa okukulembera Essaza Mawokota, azze mu bigere bya Sarah Nannono Kaweesi eyalondeddwa mu buvunanyizibwa obulala. Hajj Kagga entebe eno akuuma nkuume mu kiseera kino.
Owek. Sarah Nannono awaddeyo alipoota eri Hajj Kagga mu maaso ga Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke ku mbuga y’esaza e Butoolo.
Oweek. Kazibwe alambise nti Obwakabaka tebulina buzibu na muntu yenna eyeggwaniza ekifo kyonna nga muweereza wa Ssaabasajja Kabaka naye basaanidde okwegendereza engeri gye bawaayo woofiisi zaabwe.
Minisita agasseko nti abawereza mu Bwakabaka tebasikangana bittoji wabula bawaayo woofiisi mu mirembe olw’ekifanaanyi ky’obuweereza bwe baddemu bwatyo yebazizza Kayima awummudde olw’okuwaayo alipoota mu mirembe.
Owek. Kazibwe asabye Bannamawokota okukwatirako Hajj Hassan Kagga awamu n’omumyuka we Mw. Godfrey Pizaroh Mujjuzi mu buwereza buno. Minisita agamba nti omukulembeze mu Bwakabaka asaanidde okuteeka okutu kwe ku ttaka okuwuliriza abantu be kye bamugamba, okubeera omwetowaze, okubaako by’atunuliidde okukola, obutelumaaluma na banne nga byonna bigenderera okussa ekitiibwa eri Nnamulondo.

Oweek Sarah Nannono ne Hajj Hassan Kasujja mu tayi emyufu nasembayo owek Kazibwe Kitooke
Kayima omuwummuze, Sarah Nannono awaddeyo alipoota erambika ebyo ebituukiddwako mu bbanga ly’abereedde Kayima omubadde; okuddaabiriza embuga, enju ya Kayima “Musaale”, okununula ebitundu ebimu, okuteeka amataala okuyambako mu kiro, okutumbula ebyemizannyo, okuzimba bbuggwe ku kisaawe ky’essaza, okuteeka akatimba okwetolola embuga, okukuuma n’okutaasa ettaka lya Kabaka, ennimiro y’emmwanyi n’ebintu ebirala.
Ye alondeddwa okukuuma essaza, Hajj Hassan Kagga asabye abantu bonna okumukwatirako mu buweereza buno era aweze okukola emirimu ga Beene mu bwerufu. Nga bweri enkola, Oweek. Nannono yawandiikira Kamalabyonna bwe yafuna obuvunanyizibwa obulala okuva ew’omukulembeze w’eggwanga n’okutuusa bw’awabaddeyo woofiisi mu butongole.
Minisita Kazibwe mu nteekateeka eno awerekeddwako Ssenkulu wa BUCADEF Omuk. Alfred Bakyuusa, Omukwanaganya wa Gavumenti ez’Ebitundu Mw. Harris Lubega n’abantu abalala bangi abeetabye ku mukolo guno.