Oweek Israel Kitooke nga abakwasa ebaluwa ezibakakasa mu buweereza
Omwami w'Essaza Buweekula, Luweekula Oweek Andrew Ssempijja Mukasa n'Abamyuka be, Deogratious Sajjabi, ne Ponsiano Kyambadde, batuuziddwa mu buweereza buno obwabaweebwa Ssaabasajja Kabaka.
Minisita w’Amawulire Okukunga, era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, ku lw’akatikkiro yakulembeddemu omukolo ogw’okutuuza, era akuutidde Abaami n’abakulembeze okukola n’Obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, n’obwagazi.
Oweek Israel Kitooke ng'atuuza oweek Luwekula
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka, n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, akaayuukidde bannabyabufuzi abafuuze omuziziko mu nteekateeka z'Obwakabaka, n’asaba abantu okutunuulira nkaliriza mu kiseera ky’akalulu nga kituuse.
Luweekula Andrew Ssempijja Mukasa, n'Abamyuka be abatuuziddwa, bategeezezza nti bagenda kuteeka nnyo ku mwanjo abavubuka, nga babateeka mu bukulembeze obw’enjawulo kisobozese emirimu gy’Essaza okwanguwa.