Katikkiro nga ayozayoza omuzannyi w'ensamba ggere Jantuyo Juma
Katikkiro asisinkanye omuzannyi w'ensamba ggere Jantuyo Juma eyawangula omusipi gwa World All Fights System Organization gyebuvuddeko.
Jantuyo azannyira mu Poweflex Kickboxing academy, yakuba Ivan Koreta okuva mu Pentagon Kickboxing academy nga 31st December omwaka oguwedde ku Bugiri Medical grounds.
Abadde wamu n'abatendesi be okubadde Omulangira Walugembe Latif ne Mujaasi Farouk.
Bwabadde ayogerako eri bannabyamizannyo bano, Katikkiro alaze emigaso mukaaga egiri mu by'emizannyo;
1). Okuvumbula ebitone
2). Emizannyo gisanyusa era giwummuza.
3). Emizannyo mulimu
4). Eby'emizannyo bireeta obulambuzi.
5). Eby'emizannyo biyingiza omusolo eri Gavumenti.
6). Emizannyo gigatta abantu.
Oweek Ssaalongo Sserwanga Robert
Ye Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone, Oweek Ssaalongo Sserwanga Robert, agamba nti omulanga gwa Ssaabasajja eri abavubuka buli omu okubaako kyakola, gweyolekera mu bunyiikivu, kubanga okuwangula omusipi olina okuba n'obunyiikivu ate n'obumalirivu. Wano waasabidde abavubuka ba Buganda baleme kwetuulako bafube okutumbula ebitone ebibalimu batuuke ku buwanguzi baganyule abeewabwe wamu n'Eggwanga.
Juma Jantuyo yebaziza bonna abamukwatiddeko okutuuka ku buwanguzi buno era n'asuubiza okwongera amaanyi mu muzannyo guno.