donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omutongole wa Ssaabasajja Kabaka Omulangira Wasajja Eddie atuuziddwa ku kyalo Kawaala III

Omutongole wa Ssaabasajja Kabaka Omulangira Wasajja Eddie atuuziddwa ku kyalo Kawaala III
Image

Omutongole ng’atongezebwa Oweek. Kazibwe Kitooke

Minisita w'Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w'Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke atuziiza omutongole wa Ssaabasajja Kabaka Omulangira Wasajja Eddie Gguluddene awamu n'omumyuka we Mw. Kigoye Bruhan Ssenyomo ku kyalo Kawaala III mu Ggombolola ya Mukulu wa Kibuga e Kawaala mu ssaza Kyaddondo.

Mu bubaka bwe, Minisita abakuutidde okukola obutaweera n'okwagala mu bye bakola nga baweereza Beene awatali kusiga bukyayi mu bantu kubanga Kabaka ayanirizza buli omu.

Olukiiko lw’Omutongole Olwatongozebwa

Olukiiko lw’Omutongole Olwatongozebwa

Omumyuka asooka owa Kaggo yeebaziza nnyo Omutongole Mw. Wasajja Gguluddene olw'okusitula abantu abava mu bibiina by'obufuzi byona era ng'agamba nti kino kijja kumuwa omwagaanya okwongera okugatta abantu b'ekyalo ky'atwala.

Mw. Wasajja akubye ebirayiro wamu n'Olukiiko lwe ne beeyama okuweereza Kabaka nga tebamutiiriridde era ono awaddeyo enkoko ebikumi bibiri (200) zirundibwe ab'okulukiiko bagaziye ensawo y'Olukiiko.

Omukolo guno gwetabiddwako Abaami ba Ssaabasajja Kabaka okuva ku mitendera egy'enjawulo, abakulembeze okuva mu Gavumenti eyawakati awamu n'abatuuze b'ekyalo kino.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK