![Omutaka Kisolo nga ayogerako nebazukulube Image](/images/2024/03/11/Image 1 11-MAR-2024.jpg)
Omutaka Kisolo nga ayogerako nebazukulube
Omukulu w'Ekika ky'Embogo, Omutaka Kayiira Gajuule yaguguddewo enkya ya leero.
Omusomo guli ku kakkalabizo ly'Ekika e Lubaga.
Ssaalongo Noah Ssekirembe Kigongo, Katikkiro wa Nakinsige, asomesezza ku musomo gwokwabya olumbe.
Agamba nti abasiba ekifundikwa nga kya nkonokono, kireeta ebizibu mu Kika.
Omusika omukyala bamusumikira mu Nnyumba, akwasibwa ekibbo, endeku, n'akambe akaddugavu.
Saalongo tebamwambaza kifundikwa, wabula bakimukwasa mu ngalo.
![Omutaka kisolo,Minister weby'obuwangwa nenono nabataka abalala Omutaka kisolo,Minister weby'obuwangwa nenono nabataka abalala](/images/2024/03/11/image-2-11-mar-2024.jpg)
Omutaka kisolo,Minister weby'obuwangwa nenono nabataka abalala
Omutaka Kisolo,Omukulu w'Akasolya ku Kika kye Ngonge, Mathias Kaboggoza, alangiridde nga bwebagenda okukola enkyuukakyuuka mu lukiiko olufuzi olw'Ekika kino, era abo abanaalondebwa baakutwalibwa mu lusirika babangulwe olwo basobole okuteekerateekera ekika nga babangufu bulungi.
Yebazizza abasomesa n'agamba nti omusomo gubayigirizza butya bwebatambuza emirimu mu Kika naddala okutambuza obuvunaanyizibwa obwolujegere okuva waggulu okutuukira ddala wansi. Wabula ategeezezza nti wakyaliwo omulimu munene ogwokumanyisa abakulembeze mu Kika ky'Engonge obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ng'omu ku kaweefube wokwezza obuggya, agambye nti bagenda kukola enteekateeka ey'okuzza obuggya ekizimbe omuli ekkakkalabizo ly'Ekika e Lubaga kituukane n'omutindo.
Katikkiro wa Kisolo, Ssaalongo Ediriisa Kitandwe, yebazizza bazzukulu ba Kisolo olwokwetaba mu musomo guno, naabo abatodde ensimbi eziyimirizzaawo omusomo guno.
Asabye bazzukulu ba Kisolo okunnyikiza obuweereza bwabwe eri Ekika, mu byennono, obuwangwa, n'enkulaakulana.
Abanjulidde enteekateeka z'enkulaakulana zebagenda okusoosowaza omwaka guno.
Minisita w'Obuwangwa Ennono n'Obulambuzi, Oweek Dr. Anthony Wamala, asabye bazzukulu ba Kisolo okukozesa obungi bwabwe bakulaakulanye Ekika.
Bino abyogedde aggalawo omusomo ogutegekeddwa Omutaka Kisolo okubangula abakulembeze mu Kika kino okuli, Abaamasiga, Emituba, n'Ennyiriri ku kakkalabizo ly'Ekika kino e Lubaga.
Agamba nti obuzibu obusinga mu Bika kwekuba nga ensonga zetoloolera ku bantu aboolubato abatoola ku kebalina ku lw'Ekika, songa wasobola okuteekebwawo enkola eyabuli muntu okuwayo akatono kaalina nekongereza ku mugatte ogwawamu.