donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Omutaka Gabunga Omubbulukuse, Omukulu Omuggya w'Ekika ky'Emmamba, ayanjuddwa eri Katikkiro wa Buganda

Omutaka Gabunga Omubbulukuse, Omukulu Omuggya w'Ekika ky'Emmamba, ayanjuddwa eri Katikkiro wa Buganda
Image

Katikkiro ng'abuuza ku Gabunga Omubbulukuse

Gabunga Omubbulukuse, Mubiru Zziikwa V, ayanjuddwa eri Katikkiro, Charles Peter Mayiga, n’asaba abazzukulu b’ekika ky’Emmamba okuwagira obutaka n’okukulaakulanya ennono zaabwe.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ayozaayozezza omutaka omuggya, Gabunga Mubiru Ali Zziikwa, Gabunga Omubbulukuse, olw’okudda mu bigere bya kitaawe, Gabunga Omubuze, era naasaba abazzukulu okuteeka amaanyi ku butaka basobole okuggyayo amaanyi g’Ebika byabwe.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ayozaayozezza omutaka w’emmamba omuggya Omutaka Ali Mubiru Zziikwa, Gabunga Omubbulukuse, olw’okudda mu bigere bya kitaawe, Gabunga Omubuze era naasaba abazzukulu okuteeka amaanyi ku butaka basobole okuggyayo amaanyi g’Ebika byabwe.

Omukolo guno guyindidde ku Bulange e Mmengo ku Mmande. Kamalabyonna Mayiga yategeezezza nti obuyinza bw’Omukulu w’Ekika buva wa Ssaabataka, n’agamba nti Gabunga Omubbulukuse wakwanjulirwa Nnyinimu (Ssaabasajja Kabaka) mu bwangu.

“Obuyinza bw’Omukulu w’Ekika mu Buganda buva wa Ssaabataka. Gabunga Omubbulukuse nja kumwanjulira Nnyinimu. Nkusaba okukumaakuma bazzukulu bo, okukulaakulanya ekika, n’okutambulira mu buwufu bwa Maasomoogi,” bwe yagambye.

Image 2 26-NOV-2024_large.jpg

Owek. Mayiga yayongedde okukubiriza ab’emituba n’amasiga okuwagira Gabunga Omubbulukuse n’abasaba baleme kumwesuula kubanga bulijjo obukulembeze bwetaagamu empagi ekikwata ali waggulu wakati mukugoberera ennono kubanga eno ye Ssemateeka wa Buganda.

Yagambye nti obutaka bwe butaleeta obumu mu bika byaffe n’okuweesa amaanyi Buganda okutereera mu byafaayo. “Ebika byetaagisa buli kiseera—mu kwanjula, mu kuweereza,embaga, okufiirwa bwatyo naasaba abantu okumanya nti Ebika kwekwesigama obulamu bw’omuganda era wano asabye enkizo eno erabikire ku butaka bubeere n’ amaanyi.”

Kamalabyonna Mayiga yakuutidde Gabunga n’abakulembeze b’ekika okuteekawo enkola ez’eby’enfuna ezingiramu abavubuka mu kika. Yabagumizza nti singa kino kituukirizibwa, abavubuka bajja kuba basobole okugasa Ekika kyabwe n’omukisa okufuna emirimu, era ekika kijja kwegatta mu bungi.

Yabakubirizza okwefaako ne ku mikutu gy’empuliziganya nga bagikozesa okukulaakulanya obutaka n’okugulawo ebibanja, nga bwe banyweze obumu mu bika, olwo Buganda edde ku ntikko.

Katikkiro w’ekika ky’Emmamba, Gerald Kyobe, yagambye nti enteekateeka zonna zikoleddwa mu ngeri ey’ekitiibwa n’okutuuka ku makulu g’omukolo era buli kimu kikoleddwa mu butuufu.

Dr. Wamala yeebazizza ba Katikkiro akuliddwamu Katikkiro Lutuuma olw’okutambuza enteekateeka eno.

Image 3 26-NOV-2024_large.jpg

Katikkiro Lutuuma asinzidde wano nategeeza nti Gabunga Omubuze ajja kutwalibwa e Kabowa gyagenda okusula ate enkeera ku Lwokubiri ku makya agende mu Kkanisa e Jjungo ate asule e Sagala Buwaya ate aterekebwe ku Lwokusatu ku ssaawa 8

Ono ye Gabunga owa 38, Mubiru Ali Zziikwa era nga mutabani wa Gabunga Omubuze Mubiru Zziikwa ow'okuna (4) agenda okuterekebwa ku Lwokusatu ku butaka e Ssagala Buwaya.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Dr. Anthony Wamala agamba nti ebikwata ku Bika byetaaga okuwandiikibwa era amaanyi gateekebwe ku kunnyonnyola ennono ekwata ku kulya obutaka bw’Akasolya kikendeeze ku budde obutwalibwa mu nteekateeka eno.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK