
Katikkiro w'Ekika ky'e Mmamba ng’ayanjula Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa V
Omutaka omuggya w'Ekika ky'e Mmamba, Gabunga Mubiru Zziikwa V, ayanjudwa mu Lukiiko lw'Abataka.
Essanyu libuganye abeddira e Mmamba nga Jjajjaabwe, Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa V, ayanjulwa mu Lukiiko lw’Abataka Abakulu Aboobusolya mu Buganda.
Katikkiro w'Ekika, Omw. Kyobe Kaberenge, y’ayanjudde Omutaka Gabunga eri Olukiiko, era ono ayaniriziddwa Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba.

Omutaka ne bazukulu be mu kifananyi eky'awamu ne Abataka
Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa V aweze okutwala obuvunaanyizibwa obutuufu mu kukuuma ekitiibwa ky’ekika kye n’Obwakabaka bwa Buganda, ate n’okubeera omuwulize eri Ssaabataka Kabaka wa Buganda.