
Omutaka Augustine Kizito Mutumba, omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka
Omusomo ku Nnono empisa n'obuwangwa ogutegekebwa ba Jjaja Abataka abakulu bÓbusolya, gutandise mu Lubiri e Mmengo.
Ku lwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere monsinyoli Gerald Kalumba vicar General wa Kampala, yagguddewo omusomo guno n'agamba nti keleziya ewa amaka ekitiibwa okulaba nga amaka libeera e bbanguliro erisooka era ye keleziya esooka, eno y'ensonga lwaki wabeerawo okubatiza abaana basobole okumeruka nga balina obuntubulamu. Era amasinzizo getaaga omuntu assaamu abalala ekitibwa, omugunjufu era omwetoowaze.
Alaze obwennyamivu olw'ebizibu ebiri mu maka ebivudde ku bazadde okwemalira mu mirimu olwo obuvunaanyizibwa nebabulekera abakozi b'awaka okubangula abaana nekiviirako omwana okukula nga tafunye kubuulirirwa na kubudaabudibwa kwa bazadde. Asabye abazadde batwale obuvunaanyizibwa okulambika abaana mu bintu ebinaabayamba mu bulamu bwabwe mu maaso.

Owek. Patrick Luwaga Mugumbule
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, akiikiriddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, agambye nti omuntu okuba n'ensonyi, atambulira awamu ne banne, ajjayo ekifaananyi ekituufu eky'Amaka agalimu obuntu, n'olwekyo nsonga nkulu okunyweza Amaka.
Mu kuggulawo, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, agambye nti amaka y'ensibuko y'obugunjufu, n'obuntubulamu, omusibuka enjogera, enneeyisa, obuyonjo, by'omuntu era bwebibula mu muntu kirowoozebwa nti amaka gyeyakulira tegaalimu nsa.
Omusomo gutambulira ku mulamwa, "Amaka y'emmererezo y'Obuntu ".