Baminister bakabaka ne Katikkiro eyawumula oweek Joseph Mulwanyamuli
Ebikonge okuva mu Bwakabaka n’abakungu ab’enjawulo bakungaanidde ku yunivasite y’e Makerere okwetaba mu musomo ogubadde ku mugenzi Owek. Martin Luther Nsibirwa eyaliko Katikkiro wa Buganda.
Omugenzi Nsibirwa yakola omulimu ogusookerwako mu kutumbula ebyenjigiriza mu Uganda ng’awaayo ettaka ku bwereere kwe yatandikibwawo Yunivasite y’e Makerere emyaka kikumi egiyise.
Omusomo gw’omwaka guno gwabadde wansi w’omulamwa “Okuteekawo omulimu n’obukulu bw’ebitongole by’ebyobuwangwa mu Uganda ey’omulembe guno”, era nga gwaweereddwa Owek. Apollo Nelson Makubuya omwogezi omukulu.
Apollo Nelson Makubuya y’omu ku baatandikawo ekibiina kya MMAKS Advocates, gy’akulembera ttiimu ya Commercial Transactions.
Ono ye muwabuzi wa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu Lubiri Olukulu era abaddeko mu bifo bingi eby’oku ntikko mu Bwakabaka bwa Buganda omuli omumyuka wa Katikkiro, Ssaabawolereza wa Gavumenti ne Minisita w’ebyamateeka. Ye muwandiisi w’ekitabo“Thrones & Thorns; Okufumiitiriza ku myaka 30 egy’okuzzaawo obufuzi bw’ennono mu Uganda”.