donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omusomo gwabakulira amasomero, abasomesa, n'abayambako okutambuza emirimu gy'amasomero ku kwefumiitiriza ku nkyukakyuka n'ebisomooza mu masomero n'ensomesa empya mu Buganda

Omusomo gwabakulira amasomero, abasomesa, n'abayambako okutambuza emirimu gy'amasomero ku kwefumiitiriza ku nkyukakyuka n'ebisomooza mu masomero n'ensomesa empya mu Buganda
Image

Oweekitiibwa Patrick Luwaga Mugumbule nga ayogerako eri abasomesa.

Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda akubirizza abakugu okwezza obuggya beeyongere okwojiwala mu byebakola

Oweekitiibwa Patrick Luwaga Mugumbule, bino abyogedde aggalawo Omusomo gwabakulira amasomero, abasomesa, n'abayambako okutambuza emirimu gy'amasomero ku kwefumiitiriza ku nkyukakyuka n'ebisomooza mu masomero n'ensomesa empya, oguyindidde ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mengo.

Agamba nti kikulu nnyo abasomesa okwefumiitiriza ku nsomesa empya nebamanya byebalina okukyuusa kibayambe okutambula n'enkyuukakyuuka.

Asabye abasomesa bakozese obukugu bwebafunye okuzimba obulamu bwabayizi bebasomesa ssi mu kibiina mwokka wabula ne mu mbeera eza bulijjo.

Minisita w'eby'enjigiriza n'Enkulaakulana y'Abantu, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, asabye abasomesa okulowooza ku kyokuzimba omwana obwongo okusonga okumupakira ebintu ebingi mu mutwe olumu nebitamuyamba mu biseera byomumaaso, naye eky'okuzimba omwana obwongo kye kisinga naddala mu mbeera zebatambulizaamu obulamu bwabwe obwa bulijjo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK