
Ebibinja by’Emizannyo gy’Olwaleero
Omupiira gw’ebika by’Abaganda 2025 – Quarter Finals | 28 May
Emizannyo gy’Ebika giddamu leero n’emipiira ena egy’okulwanira okwesogga oluzannya oluddirira olw’akamalirizo.
Gwe bakuba yasiibula okutuuka omwaka ogujja!
Mujje tuwagire Ebika byaffe e Wankulukuku ku kisaawe kya Ssekabaka Muteesa II, n’e Wakiso ku kisaawe kya Ssekabaka Kyabaggu.
Omupiira gw’ebika guyambye nnyo mu kutumbula ebitone mu Buganda wamu n’okugatta abantu mu bika byaabwe eby’enjawulo.