
Ennaku z’okutandika n’ebifo by’empaka z’omupiira ez’Abika bya Baganda ez’omwaka 2025 bilabikiddwa, ng’emipiira gigenda kubeerawo mu masomero ag’enjawulo
Emizannyo gy'Ebika gyazemu gyo nga Thursday 15th May, 2025 n'emipiira 16 mu bisaawe 4 okuli; Kibuli SS, Lubiri SS, Kawanda SS ne WAKISSHA.
Tiimu y'ekika Ky’Endiga yesozze enzannya z’ebibinja mu mpaka z’omupiira gw’ebika bya Baganda bw'ekubye Enjovu ggoolo 2-0 mu luzannya olw’okudding'ana olwa ttiimu 32.
Mu luzannya olwasooka Endiga yakuba Enjovu ggoolo 3-2 nga bano bayitiddewo ku mugatte gwa ggoolo 5-2.
Mwebare kubayo mu bungi ku bisaawe byonna okuwagira Ebika byaffe.