Ssaabasajja Kabaka asiimye nateeka omukono ku mupiira oluvannyuma naagusamba, ng'akabonero akalaga nti empaka zino azigguddewo mu butongole.
Batabani ba Ssebwana aba Busiro bagguddewo n'aba Kayima abe Mawokota, era gugenze okuggwa nga Mawokota ekubye aba Busiro goal 3-1.
Katikkiro yebazizza abategesi, abawagizi, abazannyi, omulangira nabalangira, agambye nti omupiira gubadde mulungi gunnyumye, twagala omupiira ogw'akawoowo, omulungi nga gulimu empisa, tetwagala bayomba, bavuma bantu, twagala awangudde mubutuufu yaba awangula.
Sekabembe, yebazizza Ssaabasajja olwokusiima nalabikako eri Obuganda, Abalangira, Kabineeti,
agamba nti entandikwa ebawadde essuubi era kati batunuulidde wasemba kubanga mu maaso watangaavu.