
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, alambula ku mukolo gwa ‘Vintage Collectables Rotary Fellowship’ ku Serenity Oasis Recreation Center e Busega–Ssumbwe.
Banna-Rotary aba 'Vintage Collectables Rotary Fellowship' bano benyigira mu kukunganya ebintu eby’edda omuli emmotoka, amasimu, ppaasi, ebivuga eby’enjawulo, laadiyo n’ebirala, bakyusiza obukulembeze ku mukolo ogutegekeddwa ku Serenity Oasis Recreation Center e Busega–Ssumbwe.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, asinzidde ku mukolo guno n’akubirizza abantu obutasanyawo bintu bye bakozesezza kubanga mu dda bisobolera ddala okubeera ebyo by’omugaso, abantu abalala babisomeko, okwejjukanya, ate bifuuke bya bulambuzi ne bivaamu ensimbi eri abo abasobodde okubikuuma.

Olupapula lw’amawulire olwa Uganda olwasooka
Owek. Nsibirwa yebazizza Ssentebe awummudde Mackay Mwebingwa olw'obuweereza obulungi ate n’ayaniriza ne Ssentebe omuggya Edgar Nsereko.
Bano abasabye okubaako ekintu kye bakola eky’omuzinzi ekigasa abantu obutereevu, okugeza okudduukirira abantu abakuze mu myaka oba ekintu ekirala kyonna.

Ezimu kumotoka ezasooka mu Uganda
Omuk. Farooq Busuulwa, mmemba ku bboodi y’Ebyobulambuzi mu Buganda era omutandisi w’ekifo ewategekeddwa omukolo guno, almtuuziddwa nga Omuyima w'akabondo kano akakunganya n'okukuuma eby’edda.
Agamba nti kikulu nnyo omuntu okumanya gy’ava okusobola okutegeera gy’agenda, era abantu basaana okukuuma ebintu bye bakozesezza obutamala gabisuula.
Wano wabaddewo n’okwolesa ebintu eby’enjawulo ebyalibaddewo okumala ebbanga, okuli emmotoka, amasimu, ebivuga n’ebirala.