Oweek Robert Nsibirwa wakati nabaana bamasomero
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa atikudde oluwalo lwa bukadde 30 okuva mu bayizi ba St. Janan School abakiise embuga olwaleero.
Essomero lino lya musajja wa Kabaka Omuk. Mike Kironde era lirina amatabi ag'enjawulo.
Oweek Nsibirwa asanyuse nnyo okulaba nga abaana b'essomero bakiika embuga n'abakuutira okwettanira ennyo ensonga z'Obwakabaka era bamanye ebibakwatako ng'abayizi. Abasabye babeere bawulize eri Nnamulondo.
Oweek Nsibirwa ayagalizza abayizi ab'ebibiina ebigenda okukola ebigezo bya UNEB okussaayo omwoyo basobole okubiyita, era akuutidde abasigadde bafeeyo bakole bulungi basobole okusumuusibwa okugenda mu bibiina ebiddako.