donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro akubirizza abazadde okukuliza abaana mu nnono y’amaka basobole okukuuma omukululo

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro akubirizza abazadde okukuliza abaana mu nnono y’amaka basobole okukuuma omukululo
Image

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’awa obubaka bwe mu lukuŋŋaana lwa Great Educators Forum ku Hotel Africana

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abazadde okubeera n’ennono okutambulizibwa omukululo gw’amaka era bakuze abaana nga babalaga bwebasobola okutambulira mu buufu obwo mu ngeri ebasobozesa okukuuma n'okukulaakulanya amaka nga bali bumu.

Owek. Nsibirwa agamba nti obulamu bw’omwana obutali bwa buufu bukosa amaka, olw’okuba abaana abamu batuuka okusikira ebintu nga tebafuna miramwa (ngeri yakubiddukanyamu) egibayamba kubirabirira. Kino kiva ku bazadde abatafaayo kubalambika bulungi mu nnono n’obukulembeze obw’amaka.

Yawadde eky’okulabirako ky’eyali Jjajjaawe, Owek. Martin Luther Nsibirwa, eyafaayo okusomesa abaana be bonna n’abalambika mu ngeri ebasobozesa okutambuza obulungi eby’obugagga n’obukulu bw’amaka.

Image

Owek. Choltilda Nakate Kikomeko (ku ddyo) ne Owek. Robert Waggwa Nsibirwa (makkati) nga bali mu lukung’aana

Okwogera bino abadde mu nsisinkano ya Bannabyanjigiriza Abakukunavu abeegattira mu kibiina ekya "Great Educators Forum" ku Hotel Africana era etambuliziddwa ku mulamwa 'Omukululo gw'Amaka'

Mu bubaka bwe, Owek. Nsibirwa yagambye nti abazadde balina obuvunaanyizibwa bw’okuyamba abaana okukula nga balambikiddwa mu by’ennono n’ebyenfuna by’amaka. Yategezezza nti kino kiganyula omukululo n’enkulaakulana ey’omulembe, nga kiba ekiragiro ekisingira ddala okukolebwa mu maka.

Owek. Nsibirwa yennyamidde okulaba nti abaana bangi tebalina buyiiya bw’okuddukanya eby’obugagga bye basikira kubanga abazadde tebaasobola kubawa miramwa gy’ekitibwa mu ngeri ebasobozesa okukulaakulanya eby’amaka.

Yakuutidde abazadde okusigala nga beekwasa nnono z’amaka era ne bagabana ebiteeso ku ngeri y’okutumbulamu obulungi obw’amaka.

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, yebazizza omukolo guno oguteekawo omukisa ogw’okukubaganya ebirowoozo n’okwongera amaanyi mu nteekateeka z’okutumbula ebyenjigiriza.

Yanyonyodde nti abasomesa basaanidde okuwa ekitiibwa enkyukakyuka ezirambikiddwa n’okunyweza obumanyirivu bwabwe.

Olukungaana luno lwetabiddwamu abantu ab’enjawulo abakwatibwako mu by’enjigiriza, omuli abatandisi b’amasomero, abakulu b’amasomero, n’abasomesa

Olukungaana luno lwetabiddwamu abantu ab’enjawulo abakwatibwako mu by’enjigiriza, omuli abatandisi b’amasomero, abakulu b’amasomero, n’abasomesa

Ensisinkano eno yetabiddwamu bannabyanjigiriza bangi, omuli abatandisi b’amasomero, abakulira amasomero, n’abasomesa. Bonna bagabanye ebirowoozo ku ngeri y’okutambuza ebyenjigiriza mu Buganda n’okutumbula enkulaakulana y’amaka.

Omugaso gwa nnono n’omukululo

  • Okulaga abaana omukisa okugenda mu bitundu ebitali bimu basobole okufuna amagezi ag’enjawulo.
  • Okuwagira enkola ey’okukukuuma amaka n’okugattawo eby’enkulaakulana eby’omulembe.
  • Okukubiriza abazadde obutayonsa buvunaanyizibwa ku baana mu nsonga ezikwata ku by’obugagga n’omukisa ogw’okuyiga.

Wano, obubaka bwa Owek. Waggwa butadde essira ku byetaago by’okukulaakulanya amaka nga buli omu agaba ebyo by’asobola okukola okukyusa enkola z’amaka n’ensi awamu.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK