Ensisinkano egendereddwamu okulaba enjuuyi bweziyinza okukwatira awamu mu kaweefube w'okulwanyisa mukenenya naddala mu bavubuka.
Enkolagana enaagunjibwawo, erimu okutandikawo essomero erisomesa abasawo abajjanjaba abalwadde ba mukenenya mu baana abato, okutandikawo embudaabuda y'Abavubuka ku nsonga ze by'obulamu, okunnyikiza engeri yokwewalamu endwadde eziva ku nneeyisa y'omuntu (okugeza; okunywa omwenge, obwamalaaya, n'ebirala), era banoonya okuzimba "Baylor foundation Centre" nga bakolaganira wamu n'Obwakabaka mu kitundu ekiriraanye Kampala.
Oweek Kaawaase, abeebazizza okukwatagana n'Obwakabaka mu by'obulamu, n'akiggumiza nti eby'obulamu bigwa mu Ssemasonga ey'okuna (4) era Kabaka yabiteeka ku mwanjo nnyo ate naddala mu kulwanyisa mukenenya.
Abasuubizza okubakwasaganya ne Ministule y'enkulaakulana y'Abantu, Buganda Land Board, BICUL, balabe engeri gyebatwalamu ensonga eno mu maaso.