Mu mambuka ga Nigeria, gy'atumiddwa Ssaabasajja Kabaka, ku mirimu emitongole, okwetaba mu bikujjuko ebya "Kano Durbar Cultural and Religious Festival". Awerekeddwako Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja, n'omuyambi we, Joweria Mbejjo.
"Kano Durbar", nteekateeka etambulizibwa ku mulamwa ogw'obuwangwa n'eddiini, okujaguza entikko y'omwezi ogwa Ramadhan ogw'okukuza Eid Elfitr, ate n'okukuza Eid Al-Adha ey'okusala ebisolo, mu kitundu ekyo.
Yeetoloolera ku Emir of Kano, ng'etandika n'okusaba, ate oluvannyuma ne batambulira ku luseregende lw'embalaasi, okwolekera Olubiri lwa Emir w'e Kano, emikolo gye gigwera ng'abantu bakungaanye okwoleka obuwulize eri Emir.
Ebikujjuko bimala ennaku nnya nga boolesa ebintu eby'enjawulo ebyekuusa ku buwangwa n'emirimu egikolebwa mu kitundu ekyo.