
Katikkiro ng'alambula omulimu gw'okuzzaawo Amasiro g'e Kasubi, ng'ali wamu n'abakungu b'obwakabaka abalala
Omulimu gw'okuzzaawo Amasiro g'e Kasubi gutuuse ku mitendera egisembayo, Ssaabasajja asiimye n'omulimu ogukoleddwa.
Okuddaabiriza kabuyonjo, oluggya omusimbwa e motoka, okuyunga amasannyalaze mu buli kanyomero, okumaliriza ennyumba z'Abazaana, bye bimu ku bisigadde okutereezebwa, olwo omulimu gw'okugaddaabiriza guggyibweko engalo.
Bw'abadde alambula omulimu guno, Baminisita ba Kabaka ssaako abakiise mu lukiiko lwa Buganda, naddala abatuula ku kakiiko k'ebyobuwangwa n'ennono, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti ebisembayo mu kuyoyota ennyumba byetaaga bwegendereza, era omulimu okujjibwako engalo gulina okuba nga guwedde bulungi.

Amasiro g'e Kasubi mu Kampala nga gaddaabirizibwa oluvannyuma lw'omuliro okugocha mu 2010
Yebazizza nnyo obugumiikiriza abantu ba Buganda bwe boolesezza nebataterebuka olw'obulumi bwe bayiseemu.
Mu kiseera kino, abalambuzi, amasomero, n'Abantu ssekinnoomu bakkirizibwa okugenda okulambula amasiro gano oluvannyuma lwa UNESCO okugawanduukulula ku lukalala lw'ebifo by'obulambuzi ebiri mu katyabaga gyebuvuddeko.
Amasiro g'e Kasubi gayokebwa omuliro mu mwaka gwa 2010, era kaweefube w'okugazzaawo azze akolebwa mu ngeri ez'enjawulo, omuli okusonda ettoffaali, olumuli n'endala.