Oweek Katikkiro nga ayaniriza Omulangira Edward Antony
Kitegeerekese nti endagaano eno egenda kuvaamu enteekateeka ne Puloojekiti ez’enjawulo ezigenda okuwa abavubuka ba Buganda obukugu wamu n’okubakulaakulanya.
Bw’abadde ayogera ku mukago guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga annyonnyodde nti endagaano nnyingi ezizze zikolebwa wakati wa Buganda ne Bungereza era nga mukisa gwa njawulo kuba Obwakabaka bwa Buganda ne Bungereza bulina bingi byebufaanaganya era bwagezaako okukolaganira awamu.
Katikkiro Mayiga agamba nti kino kyelaga mu bbaluwa Ssekabaka Muteesa I gyeyawandiikira Nnaabakyala wa Bungereza Victoria nga amusaba ajje ayigirize abantu be okusoma n’okuwandiika era wano wewasibuka Uganda eriwo kati.
Kamalabyonna Mayiga agasseeko nti Beene omulembe gwe yaguwa bavubuka okwongera okulaba obukulu bwabwe okusobola okutereeza ebiseera bya Buganda ne Uganda eby’omu maaso kuba bano kwebiyimiridde.
Omulangira Edward nebeyazenabo nga banirizibwa Katikkiro, Nalinya Agnes Nabaloga na abalagira Wassaja ne Junju.
Prince Edward and his team were welcomed by the Katikkiro, Princes Agnes Nabaloga and the Buganda Princes Wassajja and Junju.
Kitegeerekese nti endagaano eno egenda kuvaamu enteekateeka ne Puloojekiti ez’enjawulo ezigenda okuwa abavubuka ba Buganda obukugu wamu n’okubakulaakulanya.
Bw’abadde ayogera ku mukago guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga annyonnyodde nti endagaano nnyingi ezizze zikolebwa wakati wa Buganda ne Bungereza era nga mukisa gwa njawulo kuba Obwakabaka bwa Buganda ne Bungereza bulina bingi byebufaanaganya era bwagezaako okukolaganira awamu.
Katikkiro Mayiga agamba nti kino kyelaga mu bbaluwa Ssekabaka Muteesa I gyeyawandiikira Nnaabakyala wa Bungereza Victoria nga amusaba ajje ayigirize abantu be okusoma n’okuwandiika era wano wewasibuka Uganda eriwo kati.
Kamalabyonna Mayiga agasseeko nti Beene omulembe gwe yaguwa bavubuka okwongera okulaba obukulu bwabwe okusobola okutereeza ebiseera bya Buganda ne Uganda eby’omu maaso kuba bano kwebiyimiridde.
Prince Edward on the left and the Prime Minister on the right watching the MOU being signed.
Oweek. Mayiga agamba nti endagaano eno ejja kuyamba okuwa abavubuka okugatta abavubuka n’okubawa obukugu awamu n’obumalirivu basobole okulaakulana kuba ebitundu 70 ku buli 100 ku bukadde 14 obuli mu Buganda bali wansi w’emyaka 30 ekitegeeza nti balina okubateekako essira.
Ono annyonnyodde nti tekikola makulu okweyita Ekkula ly’Afirika nga Winston Churchill bweyayita Uganda nga tebasobola kutereeza biseera bya bavubuka ba Uganda ne Buganda eby’omu maaso.
Oluvannyuma lw’ endagaano eno, Katikkiro alambuzza Omulangira Edward ebimu ku bifaananyi by’ ebyafaayo ebiri mu Bulange era namwanjulira abamu ku baminisita n’abakungu ab’enjawulo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Omulangira Crispin Jjunju, Omulangira David Wasajja ne Baminisita ba Kabaka ab’enjawulo..