
Baganda b’omugenzi ne Nnaabagereka mu Masiro e Kasubi
Omulangira Omubuze Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba, omwana wa Ssekabaka Edward Muteesa II, aterekeddwa mu Masiro e Kasubi.
Bannaalinya, Abalangira n'Abambejja, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Katikkiro Charles Peter Mayiga, Bakatikkiro abaawummula, Baminisita, Bannaddiini, Abaami Abaamasaza, Abakungu b'ebitongole bya Kabaka, Abooluganda n'emikwano bazze okuwerekera Omulangira Omubuze.

Abaana b’Omugenzi Omulangira Golooba
Jjajja w’Obusiraamu mu Buganda, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, ayogedde ku Omulangira Golooba ng’omuntu abadde omwegendereza ennyo mu byonna by'akola , ow’empisa, era mwesimbu ddala.
Agambye nti newankubadde nga yasiramuka ebbanga si ddene emabega, yafubye nnyo okusoma n’okuyiga ebikwata ku ddiini y’Obusiraamu. Nakibinge amusabidde Allah amusaasire ku byonna ebyamusobako.
Agattako nti Omulangira Golooba atawanyiziddwa nnyo obulwadde, era yeebazizza abo bonna abamujjanjabye okutuusa Allah lwe yamujjuludde.
Asabye abantu okukola obulungi, okufaayo ku bannaabwe, era n’okulongoosa mu maaso g’Omutonzi waabwe, kubanga okufa kwa buli muntu, ate nga tewali amanyi kiseera kye.
