Rt Rev Bishop Moses Banja wakati ne mukyala we
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayozaayozezza omulabirizi omugya owa Namirembe, Rt Rev Bishop Moses Banja atuuziddwa ku kanisa Lutiko ey'omutukuvu Paulo E Namirembe. Ssaabasajja mu bubaka bwe obusomedwa Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, agambye nti omulabirizi omuggya asaanidde okukulembera abakkiriza okubayisa mu kiseera kino.
Kabaka agasseeko nti omulabirizi awummudde Wilberforce Kityo Luwalira alese omukululo era noono asaanidde okutambulira mu buufu bwe bumu nga avuddeko bwabadde. Amusabye okukulembera obulungi abantu ba Katonda wakati mu kumusabira okukwata obulungi emirimu gy'e kanisa wamu n'abakulisitaayo.
Ate ye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, agambye nti Obwakabaka ne kkanisa butambulidde wamu okuviira ddala ku ntandikwa bwatyo neyeyama okukwasizaako omulabirizi omuggya mu ntambuza ye mirimu.
Asabye omulabirizi Banja okutambulira awamu nga bassa enteekateeka y'okukulaakulanya obuganda ne kkanisa omuli okulwanyisa obwavu, okulwanyisa Sirimu wamu nokuzuula n'okutumbula ebitone by'abavubuka ssaako n'okulwanyisa obwaavu n'ekibba ttaka.
Agasseeko nti ensonga za Buganda, ssemasonga nabakulisitaayo zibakwatako nga bayambibwako e kkanisa okusobola okuzissa mu nkola nga balinnyisa omutindo gw'omukulisitaayo owa bulijjo. Yebazizza nnyo omulabirizi awummudde olwa byonna byakoledde obulabirizi bwe Namirembe.