
Omulabirizi wa West Buganda omuggya, Rt. Rev. Gaster Nsereko, ku mukolo gw’okutuuza
Omulabirizi wa West Buganda omuggya, Rt. Rev. Gaster Nsereko, atuuziddwa ku mukolo ogubadde e Kako mu Buddu ku Ssande.
Obwakabaka bwa Buganda bumusuubizza obuwagizi mu nteekateeka ez’enjawulo ez’okukulaakulanya Obulabirizi n’Obwakabaka. Kino kiyisiddwa mu bubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, obwasomeddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro akulisizza Abakristayo ba West Buganda olw’okufuna Omulabirizi omuggya, nga mu bubaka bwe agambye nti Rev. Nsereko, muzzukulu wa Nnamwama, ajja kuweereza mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa.
Katikkiro Mayiga yagambye nti: "Nsuubiza Omulabirizi nti Obwakabaka bwetegefu okumuwagira mu nteekateeka ez’okukulaakulanya Obulabirizi n’Obwakabaka bwa Buganda."
Mu ngeri yeemu, Katikkiro akulisizza Omulabirizi omuwummuze, Rt. Rev. Henry Katumba Tamale, ng’eyavudde mu buweereza obulungi.
Amwebazizza wamu ne mukyala we olw’emirimu gye bakoze egy’obulungi, n’amwagaliza okuwummula obulungi.

Obwakabaka bwa Buganda bwakiikiriddwa ku mukolo guno Owek. Robert Waggwa Nsibirwa (ku kkono), awamu n’abakungu abalala
Obwakabaka bwa Buganda bwakiikiriddwa ku mukolo guno Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, awamu n’abakungu abalala omuli Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Owek. Gertrude Ssebuggwawo, Minisita Noah Kiyimba, n’Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba.
Omukolo guno gwakulembeddwa Ssaabalabirizi Rt. Rev. Steven Kazimba Mugalu era gubadde gwa kukyusa obuvunaanyizibwa okuva eri Rt. Rev. Henry Katumba Tamale okugenda eri Omulabirizi omuggya, Rt. Rev. Gaster Nsereko.