Katikkiro wakati n’Omutaka Namuguzi omupya ku ddyo, ne Lubuga we ku kkono
OMUKULU w’ekika ky’empologoma omuggya, Omutaka Ssebuganda Namuguzi Erukaana Lukanga ayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga n’amusaba ayigirize bazzukkulu be ebikwata ku okukuumira ab’ekika kino mu buufu bwa Ssabasajja Kabaka.
Omukolo guno gubadde Bulange-Mmengo , ng’ono ayanjuddwa Katikkiro w’ekika kino, Omutaka Kireega Patrick Ddungu Kisekka ng’ali wamu n’abamasiga.
Omutaka Ssebuganda Namuguzi Lukanga azze mu bigere bya Kitaawe Namuguzi Wilson Ndawula ng’ono yava mu bulamu bwensi nga August 14, 2024 era yawereddwa Lubuga nga ye Suzan Nalwadda okuva mu ssiga lya Ndawula Lukanga.
Katikkiro Mayiga era asabye abazadde okulaba nga bawa n’okutuuma buli mwana erinnya erirye kiyambe okutaasa ku kuzaaya kwaago mu maaso singa buli muzadde asalawo okutuuma erinnya lye eri abaana be bonna.
Ab'Empologoma n'Obuganda bwonna bwanjuliddwa Omutaka Namuguzi Ssebuganda omuggya.
Omutaka Namuguzi Ssebuganda Erukaana Lukanga ye mukulu w'Ekika ky'Empologoma omubbulukuse ng'ono asikidde kitaawe Namuguzi Ssebuganda Wilson Ndawula Omubuze.
Omutaka Omuggya wakati ne Lubuga we, ne Katikkiro we ku kkono
Katikkiro amwagalizza obukulembeze obulungi n'amukuutira okutambulira mu buufu bwa Ssaabataka Kabaka era amusabye okunyweza obumu mu bazzukulu n'okubasobozesa okumanya ebifa mu Kika kyabwe.
Omutaka Kireega Kisekka abuulidde Katikkiro nga bwabalina essuubi nti Namuguzi Lukanga ajja kusobola okutambuza ensonga z’ekika kubanga okuva mu butoobwe abaddenga ne Kitaawe ku lusegere kyokka n’asaba Obwakabaka okumuyambako ayongere ku misomo gye.
“Omutaka Lukanga abadde ku lusegere lwa kitaawe era nnina obukakafu nti emirimu ajja kugikola bulungi kyokka okusaba kwetulina eri Obwakabaka, bwewabeerawo omukisa gwonna ogusobozesa okuddayo okwongera okusoma,gumuweebwe,” Omutaka Kireega bweyayogedde.
Omutaka Ssebuganda Namuguzi Lukanga wa myaka 27. Ava mu ssiga lya Ssegamwenge ate Nnyina ye Faustina Nakirijja.