donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Omukulu w'Ekika kye Kiwere Luwonko Omubbulukuse ayanjuddwa eri Katikkiro

Omukulu w'Ekika kye Kiwere Luwonko Omubbulukuse ayanjuddwa eri Katikkiro
Image

Katikkiro ng'ayaniriza Omutaka omuggya w'ekika kye Kiwere wamu n'abakulembeze abalala mu kika

Omutaka Alexander Basajjabaka Sserwadda mutabani w'Omutaka James Mbaale Zzamuwanga, Luwonko Omubuze, y'ayanjuddwa eri Katikkiro n'Obuganda okudda mu bigere bya Kitaawe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezeza nti mu nnono za Buganda Omutaka bw'abula, wateekwa okuzuulibwawo Omutaka omulala kubanga Ekika tekibeerera awo, era agamba nti kino kikolebwa mu kugoberera ennambika y'Ekika ekyo ekiba kiviiriddwako ow'Akasolya.

Bwatyo yeebaziza bonna abenyigidde mu nteekateeka z'okufuna Omutaka Luwonko omuggya, wamu ng'abakola ku nteekateeka z'okutereka Luwonko omubuze.

Owomumbuga asibiridde Luwonko omuggya entanda okufaayo ennyo okukumaakuma abazukkulu babeere bumu era nga batambulira mu buufu bwa Ssaabasajja Kabaka.

Amusabye okuzimba obukulembeze bw'Ekika n'okuteekawo enkulaakulana ez'enjawulo eziganyula abazukkulu n'okuyambako mu kutambuza emirimu gy'Ekika.

Katikkiro ng'ayogera eri Omukulu w'ekika ky'e Kiwere n'abazukulu be abamuwerekeddeko

Katikkiro ng'ayogera eri Omukulu w'ekika ky'e Kiwere n'abazukulu be abamuwerekeddeko

Wano era ategeezeza nti musanyufu okulaba ng'Omutaka Omubbulukuse amwanjuliddwa muvubuka, era amusabye okukozesa amaanyi g'ekivubuka okuteekawo obukulembeze obulungi mu Kika kyongere okuganja n'okumanyika.

Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ku lwa Minisita w'Obuwangwa n'Ennono, agamba nti wabaddewo okutwala ekiseera ekiwerako mu kuzuula omutaka olw'okugoberera ennono ez'enjawulo, era asabye abakulembeze mu Bika eby'enjawulo okuteekateeka ebiwandiiko ebikwata ku Bika byabwe, kubanga bya mugaso eri emirembe egiddako mu maaso ate n'okunyweza ensonga z'Ebika.

Enteekateeka z’okutereka Omut. Luwonko James Mbaale Zzamuwanga zigenda mu maaso era ajja

kusabirwa mu Kkanisa ya St. Gideon e Kigombya Mukono enkya ate nga 24 omubiri gwe gutwalibwe ku butaka e Kasiiniina mu Ssingo gy’anaaterekebwa mu kibira ku Lwokusatu nga 25.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK