Omutaka Augustine Kizito nga ali nebanalulungi beby'obulambuzi mu buganda
Baasisinkanye ku Bulange e Mengo.
Bano bakulemeddwamu eyawangula engule y'Obwannalulungi 2024 Namale Kisha Ruth, eyamuddirira Zalwango Miriam wamu ne Nantumbwe Parvin Nnalulungi w'Obutondebwensi mu Buganda 2024.
Namale Kisha eya kulembeddemu banne
Abakulisizza okutuuka ku buwanguzi, ate n'olw'okuvaayo okwetaba mu mpaka, abasabye mu byonna bye bakola okusooka okwagala kye bali wamu n'okukyenyumiriza mu Buwangwa n'Ennono zaabwe olwo baagazise n'abalala.
Abasuubiza obuwagizi mu nteekateeka zonna ze baliko ez'okutumbula Obulambuzi n'Obuwangwa bwa Buganda.