Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda nga alin'omutaka Kalibala
Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye Ebika okukola ennambika kwe batambuliza enkola y'emirimu gy'Ebika ate n'okufuba okuwa abavubuka mu bika obuvunanyizibwa basobole okumanya engeri emirimu bwegitambuzibwa.
Owek Patrick Luwaga Mugumbule bino abyogeredde Mu ttabamiruka wa bazzukulu ba Kalibbala abeddira ensenene mu ttaabamiruka waabwe abadde ku ssomero lya Lubiri SSS nga ku mukolo gwe gumu kwe batongolezza n'obukulembeze bwe kika kyabwe.
Owek Mugumbule nga ku mukolo guno abadde akiikiridde Katikkiro asoomoozezza abalina obuvunanyizibwa mu kika obutakotoggera Kika wabula bafube okukiyitimusa nga buli omu atuukiriza obuvunanyizibwa bwe.
Omutaka Kalibala nga ayogerako eri bazukulube
Omukulu w'Ekika Omutaka George Kalibbala yebazizza nnyo bazzukulu be olw'okuwagira nga emirimu egikolebwa mu Kika kyabwe kyokka n'abasaba obutakoowa nti kubanga ebyetaagisa okutambuza emirimu gy'Ekika bingi ddala.
Owek Nelson Kawalya nga ye mukuza wa Jjajja Kalibbala asabye abazzukulu okufaayo eri obulamu bwabwe ate n'obutalekaayo bazzukulu nga bajja mu mikolo gy'Ekika naddala mu budde obw'oluwumula, bano abategeezezza nti Embuga ya Kalibbala eri mu kuzimbibwa e Nsiisi enaatera okumalirizibwa.
Mw. Ian Kabali Kajubi Kattikiro w'Ekika ky'e Nsenene alambululidde abazukkulu bonna ku nteekateeka ze balina ng'Ekika era n'asoomooza abakulembeze abanjuddwa okufuba okutuukiriza obuvunanyizibwa obubasuubirwamu.