donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Omukolo Gw'okutuuza Omwami w'Essaza Bugerere n'Abamyuka be

Omukolo Gw'okutuuza Omwami w'Essaza Bugerere n'Abamyuka be
Image

Omwami ng'akutte effumu, nga Minisita Joseph Kawuki ali ku mabbali ge n'omumyuka ku buli ludda

Omwami w'essaza Bugerere, Samuel Ssemugooma Ssengooba, atuuziddwa wamu n'Abamyuka be Hajji Bashir Ziraba nga ye Omumyuka Owookusooka, n'Omumyuka Owookubiri Mugerwa Patrick. Emikolo gyonna egy’obuwangwa n’ennono egikolebwa ku mukolo gw’okutuuza omwami wa Kabaka gigobereddwa bulungi.

Obulombolombo n'emikolo egy'obuwangwa egigendera ku mukolo gwokutuuza omwami wa Kabaka, gyonna gigobereddwa.

Bwabadde atuuza Mugerere, Minisita Joseph Kawuki entanda gyamusibiridde agyesigamizza ku makulu g'effumu ng'ekimu ku byokulwanyisa ebikozesebwa mu kutaasa Nnamulondo.

Muno mulimu, Mugerere okufuba okukuumira abantu ba Kabaka ku mulamwa ebbanga lyonna nga takkiriza bannakigwanyizi kugwagwawaza bantu ba Kabaka, okufuba okutuusa ku bantu amawulire amatuufu agakwata ku Kabaka nokubategeeza nti Nnyinimu mwali alamula, era abantu bakimanye nti Kabaka naye muntu akosebwa nga abalala mu by'obulamu, nti Kabaka ayambibwako Katikkiro gweyelondedde.

Era amukuutidde okulwanyisa abo abavvoola Kabaka, naabo abagootaanya enteekateeka z'obwakabaka omuli, emisinde, emipiira gy'Amasaza n'endala.

Image

Omwami w'essaza Bugerere nga akuba ekirayiro

Amukubirizza okutwala obuvunaanyizibwa okugatta abantu ab'amawanga agenjawulo abali mu Bugerere awatali kusosola beewale ebintu ebibakoonaganya kubanga Kabaka wa bantu ba Buganda bonna.

Mu mwezi gwa Kafuumuulampawu ogwomwaka guno, Ssaabasajja Kabaka yasiima naakola enkyuukakyuuka mu baami b'Amasaza, era Oweek Samuel Ssemugooma Ssengooba yadda mu bigere by'omugenzi kati James Ssempigga.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK