Oweek. Joseph Kawuuki nga atongoza Omubaka wa kabaka mu Busia
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Busia Malaba ne Tororo, Oweek Joseph Ssenkumba atuuziddwa mu butongole era n'olukiiko lwe lulayiziddwa okutandika okukakkalabya emirimu.
Minisita wa gavumenti ez'ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki yakoze omukolo ogwokumutuuza n'omumyukawe Ronald Kizito, n'asaba abakulembeze n'abantu ba Kabaka okuvaayo n'okubeera ebeetegefu okwaŋŋanga abantu abavvoola n'okutyoboola Namulondo mu ngeri yonna esoboka.
Okulonda ababaka basabasajja mu bitunddu ebye njawulo kiyambye okukuuma obumu,nokwogera okukuuma enono zaffe.