Katikkiro nga ayaniriza Omubaka wa Butuluuki mu Uganda mu ofiisi Ye
Omubaka wa Butuluuki (Turkey) mu Uganda Mehmet Fatih, akyaddeko embuga n'awayamu ne Katikkiro ku nsonga ezitali zimu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’amukyazizza mu wofiisi ye mu Bulange e Mengo.
Katikkiro alaze obukulu bw'obugenyi buno bwagambye nti bwa kwerula emikisa eri abantu ba Kabaka abasuubula n'abakolera mu ggwanga lya Butuluuki, n'ategeeza nti bannansi ba Uganda ne Turkey bajja kuganyulwa mu nkolagana eno awatali kuwannaanya, era ebituukiddwako mu nsisinkano eno bijja kulondoolwa n'okulaba nti ebitongole by'obwakabaka bikola emikago nebinaabyo ebya Butuluuki.
"Ensi mwetuli eriibwa abo abategeera emikisa ate nebagirondoola". Bwagambye.
Katikkiro agambye nti enkolagana etandikiddwako yakwanguyiza abantu ba Kabaka okwenyigira mu enkulaakulana ez’enjawulo, naddala eziganyula abavubuka.
Katikkiro wakati n’omugenyi we omubaka Mehmet Fatih ku kkono , ate ku ddyo ye Hon Israel Kazibwe Kitooke
Omubaka Mehmet Fatih, asuubizza nti ba kubaako emirimu egitali gimu gyebakola n'Obwakabaka okwongera okunyweza enkolagana.
Ensisinkano yetabiddwamu Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke.