Ekyoto ekikulu ekikulembera okukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 69 kiri ku Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mmengo Leero.
Ebyoto bitegekeddwa ne mu bifo ebirala okwetoolola Amasaza ga Buganda gonna.
Ebyoto bitunuulidde obulamu n’obukulembeze bwa Kabaka Mutebi II okuva mu buto bwe, okutuuka kati ku myaka 69.
Tubakunga okubyetabamu, okumanya ebintu bingi okuva mu basomesa ab'enjawulo.
Bino bitegekebwa okwongera okugunjula emiti emito wamu n’okubangula abantu babuganda ku bya faayo no obuwangwa bwabwe mu bika ebyenjawulo.